Psalms 107

EKITABO V

Zabbuli 107–150

1 aMwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2 bKale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
3 cabo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

4 dAbamu baataataaganira mu malungu
nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
5Baalumwa ennyonta n’enjala,
obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
6 eBwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
7 fYabakulembera butereevu
n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
8Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
9 gKubanga abalina ennyonta abanywesa,
n’abayala abakkusa ebirungi.

10 hAbamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 ikubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 jBaakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
era n’abawonya;
14 kn’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17 lAbamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 mNe batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
n’abawonya.
20 nYabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
n’abalokola mu kuzikirira.
21Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 oBamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24Baalaba Mukama bye yakola,
ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 pKubanga yalagira omuyaga
ne gusitula amayengo waggulu.
26 qNe gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
n’amagezi ne gabaggwaako.
28Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 rOmuyaga yagusirisa,
ennyanja n’etteeka.
30Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 sBamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

33 tAfuula emigga amalungu,
n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 uensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 vEddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36abalina enjala n’abateeka omwo,
ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 wennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
ne bakungula ebibala bingi.
38 xYabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.

39 yAte ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 zoyo anyooma n’abakungu,
n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 aaNaye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 abAbagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
naye abakola ebibi bo basirika busirisi.

43 acAbalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Copyright information for LugEEEE